Nassuuti : Omulabirizi wa Mukono, Kitaffe mu Katonda Enos Kitto Kagodo simusanyufu ne Gavumenti ya Uganda olw’omuddiddi gw’ensimbi omungi gweewa ababaka ba Palamenti, kyokka bwekituuka ku basomesa abayita mu bugubi ate nga bakola omulimu gw’attendo nebalowolezebwa kitono ddala. Omulabirizi agamba ensimbi nnyingi ezigenda ku babaka olw’obungi bwabwe kyokka abamu balemereddwa n’okuteseza ebitundu byabwe byebakirira.
Bishop Kagodo abadde ku ssomero lya Mukono Boarding Primary School , mu Busabadikoni bwe Nassuuti mu Bulabirizi bwe Mukono, mukusaba kw’okusaako abaana mu ssomero lino emikono n’okuwongayo aba P.7 mikono gya Katonda wakati mukweetekerateekera ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo.
Omulabirizi Kagodo asabye abasomesa okwewala okwekalakasanga mu term ey’okusattu kubanga kino kibeera kikonzibya era kittattana okusoma kw’abaana mukiseera nga bava ku ddaala erimu okudda ku ddaala eddala mukusoma kwabwe.
Mukusaba kuno, Omulabirizi Kagodo ajjukiza abantu okubeera abesigwa mu byonna Katonda byabawadde era bafube okubikozesa okuyamba abalala kubanga Katonda abataddewo okubeera abawanika era abaweereza ba Kristo.
Akuutidde abazadde okwongera okufaayo eri abaana babwe, akubirizza abasiddwaako emikono n’abagenda okola ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo obutatya mbeera yonna kubanga balina Katonda omwesigwa abadde nabo, kyokka ayise abantu bonna okukiriza Kristo okubeera omulokozi wabwe kubanga yekka yagatta ku bantu omuwendo era yayigiriza buli omu okugasa.
Ye Ssabadiikoni we Nassuuti, Ven.Rottan Keneth Lukwago Kampi , akuutidde abaami okudda mubifo byabwe ng’abasajja bakole obuvunanyizibwa ewaka ne massomero kubanga bangi babulekedde bakyaala.
Omukulu w’essomero lino, Suzan Wamala Sserunkuuma (Mrs) , akuutidde abasiddwaako emikono okunyweelera mu ddiini yabwe era bafube okulaba nga bongera okunywezebwa mukukiriza kibayambe okwewala ebiddiini ddiini ebimeruka buli lukya olw’ebigendelerwa eby’enjawulo.
Muky.Suzan Wamala , ategezeza Omulabirizi Kagodo nga webataddewo amakubo ag’enjawulo okwongera ku namba y’abaana n’omutindo gw’ebyensoma mu ssomero lino.
Okusaba kweabiddwaako Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Bp.Jackson Matovu, Maama Catherine Kitto , Rev. Can.Geofrey Kagoye, Abasumba n’Abazadde mu ssomero lino.
MUKONO DIOCESE PRESS UNIT & MEDIA SERVICES.













