Kirangira – Nassuuti : Omulabirizi wa Mukono eyawummula, Kitaffe mu Katonda Eria Paul Luzinda Kizito , alaze obwenyamivu olw’abantu abegumbulidde okunyaga ebintu ebitali byabwe, gwayogeddeko ng’omwoyo omubi ogwetaaga okusabira, kubanga kino kikolwa ekitajjaayo njiri yakwagalana, kutabagana nakubeera bamazima eri abalala ne maaso ga Katonda.
Bishop Luzinda abadde ku Kanisa ya St.Luke,Kirangira town Church , esangibwa mu Busumba bwe Ddandira , mu Busabadikoni bwe Nassuuti mukusaba kw’okusaako Abakulisitaayo abasukka mu 50 emikono.
Mukusaba kuno, avunanyizibwa ku by’ettakka n’enkulakulana mu Kanisa eno, Munamateeka Samuel Ssebadduka , asomedde Abakulisitaayo ensalawo ya kkooti ku musango ogwaali gwalopebwa family ya Sserwanga Lwanga , nga bagamba nti be banannyini ttaka okutudde e Kanisa eno, kkooti e Mukono egobye omusango guno era nelagira family ya Sserwanga Lwanga okuyiririra e Kanisa sente zonna zetadde musango guno, kubanga kizuuliddwa nti ettaka lya Kanisa elyagiweebwa omugenzi Ddiika Banoba.
Rev.Roggers Kityo , atwaala e Kanisa ya St.Luke,Kirangira town Church , asiimye nnyo akakiiko ka State House Anti Corruption Unit, akayingira munsonga zino oluvannyuma lwa Minister Sam Mayanja okulagira e Kanisa eno emenyebweewo nga agamba nti yazimbibwa mu bukyaamu.
“Twebaza Mukama era tusuubira nti mu kaseera katono nnyo tugenda kuba tulina ekyappa kyaffe ng’eKanisa, njagala okuwa Minister Sam Mayanja amagezi okwetondera Abakuliistaayo n’okola omulimu omutuufu aleme kuwabya bantu, obuwanguzi obutukiddwaako bwongedde okutunyweeza mukukiriza era tusigala tugulumiza Mukama atukoledde ebikulu”.
Ruth Banoba (Nnamwandu), yebaziza nnyo Katonda olwebyo ebitukiddwaako, akuutidde abantu okwongera okulokoka kubanga ebikolwa ebisinga mukitundu kino bivudde ku bantu abatalina ddiini mitima gyabwe.
Ye Dr.Sarah Daisy Ssonko, eyegwanyiza ekifo ky’Omubaka wa Mukono Munisipaali mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, asbye Abakulisitaayo okwongera okola projects ez’enjawulo omuli okusimba emiti, emwanyi n’ebirala kiyambeko okwongera ku nyigiza ye Kanisa n’okwewala ababbi abegumbulidde okubba ettaka lya masinzizo.
Mukusaba kuno, Omulabirizi Luzinda aguddewo ennyumba (2 in1), esuubirwa okusuza Omusumba n’omubuulizi. Eno egenda kubeera ya Kalina bwenaba ewedde.
Okusaba kwetabiddwaako Ssabadiikoni we Seeta, Rev.Can.Edward Balamaze Kironde, Abasumba, Ababuulizi n’Abakulisitaayo.
MUKONO DIOCESE PRESS UNIT & MEDIA SERVICES











