Lutikko Deanery Friday, 10th October 2025.: Abakyaala b’abawulire mu Bulabirizi bwe Mukono, bakedde kweyiwa ku Lutikko Y’abatukuvu Firipo ne Andereya e Mukono , okulonda olukiiko olupya olunabakulembera ku kisanja ekipya nga kya myaaka 4.
Mukyaala w’Omusumba we Misindye, Racheal Sserunjogi alondeddwa okubeera Ssentebe ng’awamyuukibwa Mukyaala Ruth Ssemukuye.
Mukyaala w’Omulabirizi wa Mukono, Maama Catherine Kitto ate nga Patron wabwe, asiimye abakulembeze abanatera okuvaako, olw’omutindo gwebolesezza ng’abakulembera bakyaala ba Basumba, akuutidde olukiiko olupya okufaayo ku byenfuma by’abakyaala , okubuulira enjiri saako okukola ennyo basobole okuyimirizaawo amaka gabwe ne Kanisa era bakimanye nti babalinamu essuubi ddene nnyo.
Omuwandiisi w’Obulabirizi, Rev.John Musoke nga yakulembeddemu enteekateeka y’okulondesa, asabye olukiiko olupya okufubisa bannabwe okuwanirira Abasumba mu buweereza bwa Mukama eyo gyebali ate n’okutandikawo projects ez’enjawulo ezinavaamu ensimbi okuyamba bannabwe mu mbeera zonna.
Mukyaala Harriet Balamaze , abadde Ssentebe w’olukiiko luno, asiimye Mukama Katonda amuwadde omukisa okuweereza bakyaala banne mu bbanga lya myaaka ebiri, agamba mu buweereza bwe bafubye nnyo okutambulira awamu nga abakyaala b’abaweereza, bafubye okutandikawo projects ez’enjawulo nga n’endala nnyingi zikyaali mu pipeline, bataddewo enkungaana era bafubisiza bangi okuwa obwa memba bw’ekibiina.

Mu balala abalondeddwa.
Maama Ruth Nsubuga alondeddwa ku ky’Obuwanndiisi kyokka Nnalongo Aidah Mukooza nalondebwa okubeera omumyuuka we.
Omuwanika ye mukyaala Brendah Kawuma ate nga ye Manager wa Sacco y’Obulabirizi bwe Mukono.
Ku lukiiko luno, Mukyaala Annet Ssmpabuka alondeddwa ng’owamawulire ate mukyaala Rebbeca Kuteesa nalondebwa okubeera omumyuuka we.
Welfare, balonze Mukyaala w’Omusumba we Nsambwe, Mary Muyomba nga wakumyukibwa M
mukyaala Violah Kwegobola.
Mukyaala Sylvia Lukwago alondeddwa okubeera omwegayirizi kyokka mukyaala Jennifer Ssonko nalondebwa okumumyuuka.
Planning & Development balonze Mukyaala Victoria Lubuto Nsubuga nga wakumyukibwa Mukyaala Sylvia Mmerewooma.
Ow’abawummuze balonze Mukyaala Deborah Kawuma.
Bano baakutandika obuweereza bwabwe mu butongole mu April wa 2026
Twagala okubayozaayoza n’okubagaliza obukulembeze obulungi Mukama Katonda bwabayitidde okola.
MUKONO DIOCESE PRESS UNIT & MEDIA SERVICES









